1 Abakolonso 5:7 “Muggyeemu ekizimbulukusa eky’edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubaaga era n’Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo:”

Yesu Kristo abeera atya Okuyitako kwaffe era Okuyitako kye ki?

Okutegera obulungi esomo lino eryo Okuyitako, katusooke tuddeyo emabega mu ndagaano enkadde okuyitako gyekwatandikira era kyekutegeza.

Okuva 12:1-12 “Mukama n’abagamba Musa ne Alooni mu nsi ey’e Misiri, ng’ayogera

nti Omwezi guno gulibabeerera ogw’olubereberye mu myezi: gulibabeerera omwezi ogw’olubereberye ogw’omwaka. 2 Omwezi guno gulibabeerera ogw’olubereberye mu myezi: gulibabeerera omwezi ogw’olubereberye ogw’omwaka. 3 Mugambe ekibiina kyonna ekya

Isiraeri, nga mwogera nti Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno balyetwalira buli muntu omwana gw’endiga, ng’ennyumba za bajjajja baabwe bwe ziri, omwana gw’endiga buli nnyumba: 4 era ennyumba bw’ebanga entono nga teemaleewo mwana gw’endiga, kale abeere ne muliraanwa we ali okumpi n’ennyumba ye bamutwale ng’omuwendo gw’emyoyo gy’abantu bwe guli; buli muntu nga bw’alya, mulibalibwa ku mwana gw’endiga. 5 Omwana gw’endiga gwammwe tegulibaako bulema, omusajja ogwakamala omwaka: muliguggya mu ndiga oba mu mbuzi: 6 muligutereka okutuusa olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno:

ekkur**aaniro lyonna ery’ekibiina kya Isiraeri baligutta lwaggulo. 7 Era balitwala ku musaayi, baguteeke kumifuubeeto gyombi ne ku kabuno, mu nnyumba mwe baliguliira. 8 Awo balirya ennyama mu kiro kiri, ng’eyokebwa n’omuliro, n’emigaati egitali mizimbulukuse; baligiriira ku

nva ezi,kaawa. 9 Temugiryangako mbisi, newakubadde enfumbe n’amazzi wabula enjokye n’omuliro; omutwe gwayo n’ebigere byayo n’eby’omunda byayo. 10 Nammwe temugiirekangawo okutuusa enkya; naye erekebwako okutuusa enkya muligyokya n’omuliro. Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n’engatto nga ziri mu bigere byammwe, n’omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa

Mukama. 11 Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n’engatto nga ziri mu bigere byammwe, n’omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama. 12 Kubanga ndiyita mu nsi ey’e Misiri mu kiro kiri, ndikuba ababereberye

bonna mu nsi ey’e Misiri, omuntu era n’ensolo; era ku bakatonda bonna ab’e Misiri ndisala emisango: nze Mukama.

Okuyitako kuno kwakumibwa (kwakolebwa) nga buli mwezi ogusooka mu mwaka oguyitibwa Nisaani ku kaleenda ya Yisirayiri. Endiga yalondebwe kulunaku olw’ekumi olwomwezi guno neterekebwa okutuusa kulunaku olwekkumi n’ennya era n’etibwa  lwagulo. Omusayi gwayo gwasigibwa nga kumyango zenjiggi z’enyumba mwebasula era enyama bagilya nga njokye mukiro ekyo yonna . Singa ebalema okumalawo, esigadewo eyokyeba. Enyama bagirirangako enva ezikawa n’emigaati egitalimu kizimbulukusa. Abo abagilya balyanga bambadde, nga besibye ebimyu, n’engatto mu bigere, n’omuggo mu mukono, balya bapapa, okwokwe OKUYITAKO KWA MUKAMA

Okuyitako lye tekka erya sookera ddala  Katonda lyeyawa Yisirayiri okuyita mu Musa okulikumanga, nga bajukira lwebannunulibwa okuva e Misiri mu bufuzi bwobuddu. Naye mu kiro mwebalira enyama Katonda yatta buli kitonde ekibereberye wabula bbo ababereberye aba Yisirayiri bayitwako nebatatibwa olwo musayi gw’ediga ogwasigibwa kumyango.

Naye tumanyi nti “……amateeka bwe galina ekisiikirize eky’ebirungi ebyali

bigenda okujja, so si kifaananyi kyennyini eky’ebigambo……” Abaebbulaniya 10:1.

Era kimanyidwa nti amateeka gali galaanga ebintu bingi ebikwata ku Kristo nery’Okuyitako bwekiri. Endiga kaali kabonero akakikirira Yesu Kristo ng’omutwe gwe kkanisa nga gwe mubiri gwe.

Omutume Paulo yagamba nti “Kubaaga era n’Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo:” 1 Abakkolinso 5:7. Endiga ey’Okuyita ekikirira Yesu Kristo, “omwana gw’endiga gwa Katonda” Yokaana 1:36. Abaana ababereberye aba Yisirayiri bayitwako mukiro kiri nebatatibwa, lwa musayi gw’endiga. Nabwekityo olw’omusayi gwa Yesu Kristo, naffe abamukiriza tunnunulibwa okuva mubusibe bwe kibi lwa musayi gwa Kristo.

Ekiro (ekizikiza) kitegeza obutamanya ebikwata ku magezi ga Katonda. Olwaleero tuli mu kiro, ensi eri mubutamanya kunkola za Katonda. Kati mu kiseera kino Ekkanisa eri mukulondebwa naye kumakya ensi yonna ejja kunnunulibwa okuva mu busibe bwe kibi n’okuffa nga bwe kyali  e Misiri nti kumakya egwanga lya Yisirayiri lyanna lyannunulibwa.

Egwanga lya Yisirayiri nokutuusa leero bakyakuuma okuyitako kuno nga bajukiri olunaku Katonda lweya bajja e Misiri mu buddu.

Aba Kristayo tebakuuma kuyitako  kwaki Yudaya kubanga bbo lyabawebwa nga teeka nga bakola ekisiikirize naye Aba Krisitayo bakuuma ekyo kyennyini ekiki kkiridwa mu teeka. (1 Abakkolinso 5:7,8) “ …. Kubaaga era n’Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo: 8 kale tufumbe embaga, si na kizimbulukusa eky’edda, newakubadde n’ekizimbulukusa eky’ettima n’obubi, wabula n’ebitazimbulukuswa eby’obutali bukuusa n’amazima.”

Yesu yatuterawo ekipya nga bwetusoma mu Lukka 22:14-19

“Awo ekiseera bwe kyatuuka, n’atuula ku mmere, n’abatume awamu naye. 15 N’abagamba nti

Nneegombye nnyo okuliira awamu namwe Okuyitako kuno nga sinnabonyaabonyezebwa: 16 kubanga mbagamba nti Sirikulya n’akatono, okutuusa lwe kulituukirira mu bwakabaka bwa Katonda. 17 N’addira ekikompe, ne yeebaza n’agamba nti Mutoole kino mugabane mwekka na

mwekka: 18 kubanga mbagamba nti Sirinywa okusooka kaakano bibala ku muzabbibu, okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja. 19 N’addira omugaati ne yeebaza, n’agumenyamu, n’abawa ng’agamba nti Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku Iwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.”

Yesu y’endiga yennyini eya Katonda eyali mu kisiikirize ky’endiga eyatimba nga mu teeka ly’okuyitako.

Kukyegulo ekyasembayo, Yesu yasawo obubonero obupya “omugaati” ne “envinyo” . Mukama waffe ayita buli mugoberezi we okulya ku mugaati n’okunywa kukikompe. Verse 19, “N’addira omugaati ne yeebaza, n’agumenyamu, n’abawa ng’agamba nti Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku Iwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.”

Kino kitegeza nti tetukoma kulya mugaati na kunywa ku kikompe wabula EkKanisa eyitimbwa okwetaba mu kubonabona kwa Kristo, okumugoberera okutuusa okuffa. Omutume Paulo anyonyola omukisa guno ogwo kugabana ku kubonabona kwa Yesu nti: “Kaakano nsanyuse mu

bibonoobono byange ku lwammwe, era ntuukiriza ebibulako mu kulaba ennaku kwa Kristo mu mubiri gwange olw’omubiri gwe, ye kkanisa;” (Abakkolosaayi 1:24).

Kuno kwekusa ekimu okw’omubiri gwa Kristo.  “…….. Omugaati gwe tumenyaamenya si kwe kusseekimu omubiri gwa Kristo? 17 kubanga ffe abangi tuli mugaati gumu, omubiri gumu: kubanga fenna tugabana omugaati gumu.” (1 Abakkolinso 10:16, 17)

1 Abakkolinso 11:26 “Kubanga buli lwe munaalyanga ku mugaati guno nelwe munaanywanga ku kikompe, munaayolesanga okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw’alijja.”

Buli lwetulya ekyegulo kino tuba tujikira kuffa kwa mukama waffe. Era kino tukikola omulundi gumu buli mwakka nga bwekyali muteeka nti aba Yudaya bakuuma okuyitibwako buli mwakka kulunaku olwekkumi n’ennya, naffe tulya okyegulo kino kulunaku olw’ekkumi n’ennya omwezi ogw’olubereberye ku Kaleenda yaba Yudaya. Nga bwekiri nti kyagulo, era tukirya lwagulo okuva kusawa kummi nabiri.

Amen.